Amawulire

Akena akwatibwe- Kkooti

Akena akwatibwe- Kkooti

Ali Mivule

October 28th, 2015

No comments

File photo:Akena ne bana Upc

File photo:Akena ne bana Upc

Kkooti ya Buganda Road eragidde ssenkagale w’ekibiina kya UPC Jimmy Akena akwatibwe lwakuzimuula biragiro bya kkooti.

Omulamuzi wa kkooti ya Buganda Road Mary Kaitesi Kisakye y’ayisizza ekiragiro kino amakya galeero nga bbo abalala okuli ababaka  Betty Amongi, Fred Ebil, ne  Maxwell Akora  wamu nebanaabwe abalala balina okweyanjula mu kkooti nga 7 December lwakusalinkiriza ssaako n’okwezza omwaliriro ogwo mukaaga ku Uganda house ku mpaka.

Nga  6th /October/2015 omulamuzi  Kisakye y’ayisa ekiragiro bano balabike mu kkooti ku musango guno wabula mpaawo alabiseeko yadde nebannamateekabaabwe.

Bano era bavunanibwa kufuuka kitagasa bwebasanyalaze emirimu gy’abapangisa ku kizimbe kino nga 5 June omwaka guno.