Amawulire

Akatale ke Wandegeya tekagguddwaawo

Ali Mivule

December 17th, 2013

No comments

Wandegeya mkt

Enteekateeka z’okuggulawo akatale ke Wandegeya zigudde butaka.

Kiddiridde abasuubuzi mu katale kano okugaana okussa emikono ku ndagaano y’obupangisa ebakkirizisa okukayingira.

Abasuubuzi bano bagamba nti ensimbi eziri mu ndagaano nyingi nnyo  ate nga n’akatale kenyini tekannaba kuggwa

Akulira eby’obutale mu KCCA, Harriet Mudondo agamba nti mu lukiiko lwebatuddemu n’abasuubuzi kko n’abakungu okuva mu minisitule ya gavumenti ez’ebitundu, bategeraganye nti akatale kano kati kaggulweewo nga 22 omwezi ogujja.

Mundondo agamba nti bakugenda mu maaso nga boogeraganyaamu n’abasuubuzi okulaba engeri y’okwanguya ensonga nga tebasise muguwa