Amawulire

Akakiiko kebyokulonda kaafuna obuwumbi 7 mu besimbyewo

Akakiiko kebyokulonda kaafuna obuwumbi 7 mu besimbyewo

Ivan Ssenabulya

February 10th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Akakiiko kebyokulonda kakungaanya obuwumbi 7 nobukadde 900 okuva mu ntekateeka yokusunsula n’okuwandiisa abaali bagenda okuvuganya ku bifo byababaka ba palamenti, ate nebakunganya obukadde 220 okuva mu bavuganya ku kifo kyomukulembeze we gwanga.

Ebibalo bino bigatiddwa abekitongole kya Alliance for Finance monitoring abalondoola nkozesa ya ssente mu byobufuzi, nga bategezezza nti ssente zino akakiiko kebyokulonda kaziteeka mu nsawo enzibizi.

Ssenkulu wekitongole kino Henry Muguzi agambye nti era bazudde ngabavuganya nga bannamunigina, bebasinga okuvaamu ensimbi ennyingi.

Abatalina bibiina mwebajira bali 1,334, era nebavaamu ensimbi obuwumbi 4 nga zikola 50% ku ssente awamu akakiiko kebyokulonda zebakunganya..

Muguzi era agambye nti NRM, kyekibiina ekyasinga okuvaamu ssente enyingi kyenkana akakwumbi 1 nekitundu olwabantu baabwe abawera 497 absimbawo nga 19%, FDC yeddako nga basasanya obukadde 840 ku bantu baabwe 280 abesimbawo, NUP ykwata ekifo kyakusattu nga basasanya obukadde 723 ku bantu baabwe 241 abesimbawo.