Amawulire

Akakiiko ke byókulonda kavudeyo ku buvuyo mu kulonda

Akakiiko ke byókulonda kavudeyo ku buvuyo mu kulonda

Ivan Ssenabulya

September 15th, 2020

No comments

 

Bya Benjamin Jumbe, Akakiiko ké byókulonda kazeemu okujukiza bannauganda nti buvunanyizibwa bwabwe okulaba nti eggwanga riba nókulonda okwémirembe omutali buvuyo bwonna.

Akakiiko okwogera bino kidiridde okutya okuli mu bantu nti okulonda kwa bonna okwomwaka ogujja kwandibaamu obuvuyo nga bwe kyeyolekedde mu kamyufu ka NRM

Bwabadde ayogerera ku mukolo ogwokukuza olunaku lwa democracia olwensi yonna, Ssentebe wa kakiiko ké byókulonda Simon Byabakama, agambye nti obutabanguko mu kulonda butatanya enfuga eya democracia songa tebuvaamu kalungi konna.

Wabula Byabakama agamba nti okumalawo obuvuyo mu kulonda si mulimu gwa kakiiko kokka wabula buvunanyizibwa bwa buli munnauganda