Amawulire

Akakiiko ka Nakalema kakutte abakungu 4 mu yaffeesi ya Ssabaminita

Akakiiko ka Nakalema kakutte abakungu 4 mu yaffeesi ya Ssabaminita

Ivan Ssenabulya

August 4th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe,

Akakiiko ka maka gomukulembeze weggwanga akalwanyisa obulyake kaliko abakungu 4 okuva mu yafeesi ya ssabaminisita bebakutte.

Bano okukwatibwa kidiridde ssabaminisita Robinah Nabbanja okwemulugunya ku byambi obwaweebwa abatuuze abakosebwa amataba mu bitundu bye kasese omwali emmere ne bulangiti ebitaali ku mutindo mulungi era yagaana okubitongoza.

Abakwate kuliko akolanga kamisona owebiggwa bitalaze, Rose Nakabugo,Godfrey Kayima mubalirizi wa bitabo, Esther Odongo avunanyizibwa kukugula ebintu ne Henry Agaba Tumwine omubalirizi webitabo mu yaffessi ya ssabaminisita.

Bano bakwatibwa akulira akakiiko aka anti-corruption unit, Col Edith Nakalema era anyonyodde nti bano okukwatibwa kyakuyambako kukunonyereza kwabwe okugenda mu maaso ku migozobano egyeyolekera mu kugulira abe kasese ebintu ebitaali ku mutindo

Akakiiko kano nomwaka oguwedde kakwata abakungu 4 okuva mu yafeesi ya ssabaminisita okwa PS Christine Guwatudde ne yali kamisona owebigwa bitalaze Martin Owor olwokukwata obubi ensimbi ezaali ezokugulira bannauganda emmere mu kiseera ekyomuggalo ogwasooka.