Amawulire

Akabenje kasse 4

Ali Mivule

June 6th, 2013

No comments

Abantu bana bafudde n’abalala 8 ne babuukayo n’ebisago eby’amanyi oluvanyuma lw’akabenje akaagudde ku luguudo oluva e Jinja okudda e Iganga.

accident scene 2

Akabenje kano kagudde mu kifo ekiyitibwa Wandago okumpi n’akabuga k’e Mayuge , mmotoka ya takisi namba UAM 340 Y bw’etomereganye n’eya kabangali namba UAT 827E.

Okusinziira ku muduumizi wa poliisi e Mayuge, Carolin Akoth, takisi ebadde ku misinde egya yiriyiri edda Kampala eremeredde omugoba waayo n’esabala kabangali ebadde edda e Iganga.

 

Akoth agamba ku bafudde abana ,  ababiri bategeerekese nga  Muzaifa nga yabadde avuga tax  ne Eseza Nabirye omusawo mu dwaliro lye Iganga.

 

Abalumiziddwa batwaliddwa mu malwaliro omuli Iganga ne Jinja ate emirambo gy’abagenzi negitwalibwa mu ddwaliro ly’ e Iganga.

 

Ekivuddeko akabenje kikyatankanibwa.