Amawulire

Akabenje e Kwen kasse 2
Bya Ivan Ssenabulya
Poliisi mu district ye Kween etandise okunonyereza ku kabenje akafiriddemu abantu 2 bwebatomeddwa mmotoka etategerekse, era etayimiridde.
Akabenj kano kagudde ku kyalo Makutano mu gombolola ye Ngenge, obudde bwebubadde busaasaana.
Abagenzi kuliko Karap Patrick mutuuze we Atal n’omulala ategerekeseeko erya Isaac ngono mutuuze we Chiminyi mu gombolola ye Kaproron.
Kati omw’ogezi wa poliisi mu bitundu bya Sipi Rogers Taitika akakasizza akabenje kano.