Amawulire

Akabenje akagudde mu Mabira katuze omuntu omu

Akabenje akagudde mu Mabira katuze omuntu omu

Ivan Ssenabulya

March 30th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Omuntu omu afiriddewo mbulaga mu kabenje, songa nabantu abalala nbsabuuse nebisago ebyamaanyi.

Akabenje kano kagudde mu Mabira ku luguudo oluva e Kampala okudda e Jinja.

Mu kabenje kano mmotoka kika kya costa, eyamabalaganye nekimotoka kyamafuta.

Okusinziira ku mwogezi wekitongole kiddukirize ekya Redcross Irene Nakasiita, omugenzi kitegerekese nti musajja wabulanga ebimukwatako tebinaterekeka.

Nakasiita agambye nti abantu 14 bebalumiziddwa, nga babadusizza mu ddwaliro lye Kawolo wabulanga 3 ku bbo babadde mu mbeera mbi nebabongerayo mu ddwaliro ekkulu e Mulago.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *