Amawulire

Akabenje akagudde e Nakasongola kasse bataano.

Ivan Ssenabulya

June 13th, 2018

No comments

Bya samuel Ssebuliba.

 

 

Police ekyanonyereza ekiviirideko akabenje akagudde wano e Nakasongola, okukakana nga kasse abantu bataano mukiro ekikeeseza olwaleero.

Mukabenje kano emotoka  2 ne bodaboda bikoonaganye ku kyalo   Namayonjo , wabula nga abafudde mpaawo yabategedde.

Twogedeko n’ayogerera police mu kitundu kino Paul Kangave n’agamba nti abantu basatu  bebasimatuse nebadusibwa mu dwaliro ly’amajje wano e  Nakasongola

Ono agamba nti emotoka ekika kya Toyota saloon number No. UDB 061 D  yawabye nekoona bodaboda okwabadde abantu 2 nebafa ,teyakomye okwo newaba n’ekoona emotoka entala No. UAX 182F, okukakana nga omuwendo gw’abafudde gutuuse ku 5.

 

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *