Amawulire

Airbus endala etuuse

Airbus endala etuuse

Ivan Ssenabulya

February 2nd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa

Ennyonyi ya Uganda Airlines, kika kya Airbus A330 neo eyokubiri, amakya ga leero etuuse mu gwanga.

Ennyonzino Airbus bbiri, zitunuliddwa, zezigenda okusabaza abantu okubatwala mu bibuga ebinene ebiri ku mutendere gwensi yonna.

Ennyonyi eno bajituumye Mt Rwenzori, eyaniriziddwa ssabaminisita we gwanga Dr Ruhakana Rugunda ngekoleddwako omukolo gwamazzi okujaniriza.

Kati minisita webyentambula Gen Katumba Wamala agambye nti okuyita mu nnyonyi zino kika kya Airbus, nga Uganda bagenda kusobola okwegatta ku bitundu byensi ebirala.

Mt Rwenzori yakubukanga okugenda mu bibuga bya Bulaaya, Buwarabu nawalala.

Airbus eyasooka gyebatuuma Mt Elgon okusinga yakutonnya mu bibuga okuli Guangzhou ne Beijing mu China nawalala.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *