Amawulire

Agambibwa okwenyigira mu bubbi wakukola bulungi bwansi

Agambibwa okwenyigira mu bubbi wakukola bulungi bwansi

Ivan Ssenabulya

April 24th, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omusajja alagiddwa okukola bulungi bwansi okumala ennaku 10 oba okusibwa emyezi 3 lwakukimanyako nti waliwo piki piki jebaali bagenda okubba natatemya ku muntu yenna.

Obbo John omulamuzi we daala erisooka mu kkooti ye Makindye amusingisizza omusango oluvanyuma lwaye kenyini okugukiriza.

Kati omulamuzi amulagidde okukola bulungi bwansi okumala ennaku 10 ku kkooti ento eye Makindye bwaba alemereddwa yebake mu kkomera e Luzira okumala emyezi 3.

Omusango yaguzza nga November 24th 2020 wano mu Kampala era piki piki egambibwa okubibwa yali ya kika kya Bajaj Boxer