Amawulire

Agambibwa Okutta Omuyindi omulala bamwongedeyo

Ivan Ssenabulya

May 16th, 2018

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Omulamuzi w’eddala erisooka mu kooti e Mukono Mariam Nalugya asindise omusango gw’omusajja agambibwa okukuba musiga nsimbi ebyasi ebyamutta mu kooti enkulu.

Fred Gatukaya amanyiddwa nga Fredrick Muleefu owemyaka 45 nga mutuuze  e Banda e Nakawa asindikiddwa mu kooti enkulu.

Ono avunaninwa ne banne abalala bbo abasindikibwa edda mu kooti enkulu, okuli Francis Ogwal owemyaka 30 ng’amukumi mu kampui yobwananyini, Joseph Nalondah owa 32 amanyiddwa nga Katala omuzimbi omutuuze we Mutungo Zone IV e Nakawa, Edson Musiguzi 31 omusubuzi nga mutuuze we Nansana mu Wakiso ne Omala Kokasi wa 29 makanika mu Coca-Cola.

Bano kigambibwa nti bebatta munansi we gwanga lya China Yang Yesu owemyaka 50 mu kampuni ya Nile Steel and Plastics Limited esangimbwa ku kyalo Nangwa mu gombolola ye Nama e Mukono nga 1mu September wa 2017.

Omulamuzi tamuganyiza kubaako kyayanukula ku musango guno kubanga gwa namunkululu oguwulirwa kooti enkulu yokka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *