Amawulire

Agambibwa okutta abakyala 3 nomwana asimbidwa mu kaguli

Agambibwa okutta abakyala 3 nomwana asimbidwa mu kaguli

Ivan Ssenabulya

March 31st, 2021

No comments

Bya Ruth Anderah,

Omuvubuka owemyaka 23-year agambibwa okuba nti abadde yegumbulidde omuzze ogwokulya ebisobooza bya bakazi nga yeyambisa eryanyi asimbidwa mu maaso gomulamuzi ku kkooti eya Mwanga II court e Mengo nasomerwa emisango gye noluvanyuma nasindikibwa mu kkomera e Kitalya

Ono awerenemba nagwa kusobya ku bakazi 4 ate namala nabatta nomwana omu.

Ono ategerekese nga Musa Musasizi nga amanyiddwa nyo nga Uncle,mutuuze Mujomba zone mu Lubaga division.

Alabiseeko mu maaso gomulamuzi Amon Mugezi namusomera emisango 4 egyekuusa ku butemu.

Oludda oluwaabi lugamba nti wakati wa February 22nd ne March 15th 2021, Musasizi yatta Noreen Nabirye, Elizabeth Muteesi, Macline Ahereza, ne Violet Kansiime n’omwanawe owemyezi 3 month- Abigail Nakitende.

Musasizi avunaniddwa wamu ne Abdul Kasajja,omuvuzi wa boda akolera ku siteegi ya Mapeera zone e Lusaze mu Lubaga eyamuyambako okukweka emirambo

Bano bakudda mu kkooti nga April 12th 2021 okwongera okuwulira omusango gwabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *