Amawulire

Agambibwa okubba obukadde 9 e Mayuge akwatiddwa

Agambibwa okubba obukadde 9 e Mayuge akwatiddwa

Ivan Ssenabulya

January 5th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Poliisi mu distulikiti ye Mayuge eriko omusajja gwegalidde, ku misango gyokubulankanya obukadde 9 abatuuze mu Mayuge Town council, zebabaddenga beterekera.

Omuddumizi wa poliisi e Mayuge, Bashir Siliba agambye nti ssente zino abatuuze ku kyalo Twisanakilala bebabaddenga bazitereka.

Ssente zino, ba memba ababadde batereka 23 baali basubira nti baakuzigabana ku nkomerero yomwaka oguwedde zibayambeko ku ssekukulu wabula, omuvunanwa oluvanyuma bakizuula nti yali yabula.

Ono abadde aliira ku nsiko okuva nga 24 Decemba wabula basobodde okumukwata.

Poliisi egamba nti agenda kuvunanibwa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *