Amawulire

Agambibwa okubba embizzi bamutemyeko amagulu

Agambibwa okubba embizzi bamutemyeko amagulu

Ivan Ssenabulya

November 1st, 2019

No comments

Bya Malikh Fahad

Omusajja asimattuse okutibwa abatuuze mu gombolola ye Kibinge mu district ye Bukomansimbi olwokubba embizzi.

Ayise ku lugwanyu okufa ye Frank Sseluwu owemyaka 25, nga mutuuze ku kyalo Butayunja ngamukozi wa lejja lejja, wabulanga wetwogerera anyiga biwundu mu ddwaliro lya Butenga health center IV, abatuuze bwebamusazeeko amakugu.

Ssentebbe we gombolola ye Kibinge, Sowedi Sserwadda agambye nti obumenyi bwmaateeka bubadde bweyongedde nnyo mu kitundu, wbaula asabye abakulembeze be kyalo okuddamu okuwandiika abatuuze bonna okusobola okwejjamu abakyamu.

Akulira ebikwekweto ku poliisi ye Bukomansimbi Aziz Mambi, akakasizza kino, wabula avumiridde ebikolwa ebyokutwalira amateeka mu ngalo.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *