Amawulire

Afumbidde bakasitoma Omusota asimatuse okuttibwa

Afumbidde bakasitoma Omusota asimatuse okuttibwa

Ivan Ssenabulya

July 14th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Omusajja mu disitulikiti yé kamuli awonedde okugajambulwa abatuuze oluvanyuma lwokukitegeera nti abadde abaliisa emisota mu restaurant ye mu kifo kye byenyanja.

Minka Kyabike nga mutuuze ku kyalo Kasaka mugombolola ye Bulopa e Kamuli akkiriza nti yafumbidde ba kasitomabe omusota ng’ekyenyanja oluvanyuma lwokulemererwa okufuna ebyenyanja.

Kyabike asabye abatuuze ekisonyiwo kuba naye abadde ayiyiza famile ye esobole okufuna ekyokulya.

Peter Kaima, omu ku bakasitoma abalidde ku musota agambye nti ye awommeddwa kasupu akabaddemu akasava

Amyuka atwala ebyobulamu mu disitulikiti eno Kamuli Moses Lyagoba agambye nti tewali buzibu kasita omusota yagufumbye ne gujja bulungi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *