Amawulire

Afudde enjala bwabadde agenda okufuna emmere ey’obwerere

Afudde enjala bwabadde agenda okufuna emmere ey’obwerere

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Barbra Nalweyiso

Omusajj owemyaka 35 afudde enjala, bwabadde mu lugendo ngayokera ku kisaawe kye Gombolola okufuna ku mmere eyobwerere, eyawereddwayo omubaka wa munisipaali ye Mityana Francis Zaake.

Abantu abasoba mu 700 bebawereddwa emmere, okubadde nenkota zamatooke, ebiralala abantu bawereddwa kiro zakawunga 5, ezomuceere 8 nomutwalo gumugumu okubayambako.

Wabula okusinziira ku batuuze waliwo munaabwe ategerekeseeko erya Kawanga omutuuze mu Katanga Kibibi garage B mu gombolola ye Busimbi, afudde bwabadde atindizze olugendo.

Kelement Ssaazi, nga mutuuze u kyalo omugenzi kwabadde ava, agambye nti ono abadde amaze ebbanga nga talya nga talina mmere.

Ssentebbe wekyalo Kibibi Garage B, Margret Ssematiko agambye nti bategezeddwa, abasawo ku ddwaliro lya El Shadai medical clinic nti omugenzi baamuleese ngazirise wabula oluvanyuma amaze naafa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *