Amawulire

Afande Kirumira azze ku Mulimu

Ali Mivule

April 17th, 2014

No comments

 

Kirumira arrested

Oluvanyuma lw’ababbi okuddamu okutigomya Nansana w’atali, atwala poliisi ye Nansana Mohammed Kirumira alagiddwa okudda mu ofiisi ng’okumunonyereza ku by’okulya enguzi  bwekukyagenda mu maaso.

Aduumira poliisi mu kampala n’emiriraano , Andrew Felix Kaweesi agamba Kirumira musajja mwooyo ggwanga   wabula ng’omusango ogwamutekeebwako munene ddala.

Kaweesi era agambye nti n’omusango ogwogerwaako ssi gwannaggomola nga tegusobola kukozesebwa kumuleka bweru

Kirumira yakwatibwa oluvanyuma lw’ebigambibwa nti yafuna enguzi ya mitwalo 20 nga ssente zino zaayita ku Mobile Money.