Amawulire

Aduumira amaggye ge Somalia

Ali Mivule

December 16th, 2013

No comments

New boss

Amaggye ga African Union mu ggwanga lya Somalia gafunye omuduumizi omuggya.

Lt. Gen. Silas Ntigurirwa okuva mu gwanga lya Burundi y’alondedwa okudda mu bigere bya Lt. Gen. Andrew Gutti okuva mu Uganda.

Bw’abadde awaayo obuyinza,  Lt Gen Gutti asabye amawanga ga Africa okwongera okusindika amaggye mu ggwanga lya Somalia.

Kyo ekibiina ky’amawanga amagatte kyamala dda okuwa okulukusa amawanga ga Africa okwongera ku muwendo gw’abajaasi okuva ku 1,7000 okutuuka ku bajaasi emitwalo 22 mu mwaka gwa 2014.