Amawulire

ACME bavumirirdde obulumbaganyi ku bannamawulire

ACME bavumirirdde obulumbaganyi ku bannamawulire

Ivan Ssenabulya

December 28th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

African Centre for Media Excellency ekitongole ekirwanirirra eddembe lyabanamwulire kivumiridde obulumbaganyi obwakoleddwa ku bannamwulire olunnaku lwe ggulo mu distulikiti ye Masaka, mu kampeyini zokulonda kwa 2021.

Mu kanyolagano kano munnamwulire wa Gheto TV Ashraf Kasirye yalumiziddwa nabalala okwabadde owa Radio One, owa NTV Ali Mivule nowa NBS Daniel Lutaaya nga wetwogerera abali bakyali ku bitanda.

Bino byabaddewo poliisi bweyabadde yezooba nabawagizi ba Robert Kyagulanyi.

Kati mu kiwandiiko ekivudde ewa ssenkulu wa ACME Dr Peter Mwesige, agambye nti ebikolwa ebyobuswavu ebyokulumbagananga banamawumulire biretawo okutya omwananyi.

Kino agambye nti kulinyirirra ddembe lyabuntu, era atadde gavumenti ku nninga okukakasa nti ebikolwa bino bikoma.

Ono ayogedde neku byaliwo wiiki ewedde, okukwatibwa kwa munnamateeka omulwanirizi we ddembe lyobuntu Nicholas Opiyo akulira ekitongole kya Chapter Four Uganda, ne bannamateeka abalala Herbert Dakasi, Anthony Odur, Esomu Obure Hamid Tenywa ku misango gyokwoza mu ssente.

Bino agambye nti byonna byoleka engeri eddembe lyokweyogerera gyerigenda lisereba mu gwanga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *