Amawulire

Aceng awolereza ensimbi abamalwaliro agóbwannanyini ze basaba aba Covid

Aceng awolereza ensimbi abamalwaliro agóbwannanyini ze basaba aba Covid

Ivan Ssenabulya

July 8th, 2021

No comments

Bya Prossy Kisakye

Minisita w’eby’obulamu Dr. Jane Ruth Aceng awolerezza abamalwaliro ag’obwananyini ku bisale by’okujanjaba ssenyiga omukambwe, abasinga byebemulugunyako nti biri waggulu era byandikyuse.

Ku lunnaku Lwokubiri ababaka ku kakiiko ka palamenti akalondoola gavumenti mu ntekateeka zokulwanyisa COVID-19, baakunyizza abamalwaliro gobwnanayini.

Bano bategeeza ababaka nti obukadde 3 nekitundu zebakozesa okujanjaba omulwadde omu mu waada eyabayai, buli lunnaku.

Kati bweyabadde yayanjudde eri akakiiko kano akakubirizibwa omubaka we Bugweri Abdul Katuntu, Dr. Aceng yagambye nti ssente zino ntuufu, kubanga nabo mu ddwaliro lya gavumenti e Mulago bakozesa obukadde 3, olunnaku.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *