Amawulire

Abooluganda lwa munnauganda efayiira ku kyeyo baddukidde mu kkooti

Abooluganda lwa munnauganda efayiira ku kyeyo baddukidde mu kkooti

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2020

No comments

Bya Prossy Kisakye, Ekibiina kyóbwannakyewa ekirwanirtira eddembe lya bakyala ki, Women’s Probono Initiative, kitutte kampuni ya Transcend International etwala bannauganda ebweru okuba ekyeyo mu kkooti mu muwala gwe balagajalira nafiira mu Saudi Arabia.

Mu kwogerako ne bannamawulire mu kampala omukwanaganya wemirimu kibiina kino, Beatrice Kayaga, ategeezeza nti Namubiru Justin 31yrs yakubira aba Transcend International, ngayemulugunya kumbeera embi mweyali ayita nobulwadde obwali bumukwatidde ku mulimo nasaba akomezebwewo omwezi ogwomukaaga omwaka guno wabula nebatafaayo

Yye maama womugenzi Janet Nansikombi ategeezeza nti muwalawe Namubiru yabategeeza nti embeera mwali si nnungi nabasaba okugenda bagerezeganye ne kampuni eyamutwala ebweru bamuze era neberema wabula oluvanyuma bamutegeeza nti muwala waabwe yafa era nebabasasula omusaala gwe yali yakakolera

Oluvanyuma basaba maama womwana akkirize omwana azzikiibwe e Saudi Arabia kyeyawakanya

Kati Nansikombi okuyita mu Women’s Probono Intiative addukidde mu kkooti ewalirize kampuni eno ekomyewo ebisigalira byomugenzi asobole okuziikibwa obulungi