Amawulire

Abóbuyinza e Jinja bakugema abasomesa bonna ekirwadde kya covid

Abóbuyinza e Jinja bakugema abasomesa bonna ekirwadde kya covid

Ivan Ssenabulya

February 26th, 2021

No comments

Bya Abubaker Kirunda,

Ab’obuyinza mu kibuga e Jinja batandise okuwandiika abasomesa bonna, okusobola okubagema Covid-19 wakati mu kwetegekera okuggulawo amasomero.

Akulira eby’enjigiriza mu kibuga kino Amina Mutesi agamebye nti okuwandiisa kuno kukwata ku masomero ga gavumenti nobwananyini.

Abasomesa bennyini batekeddwa okujjayo empapula zokwewandiisa, ku wofiisi zebyenjigiriza.

Okuwandiisa kuno kugenda kubeera kwa bwerere, nga bwakugemebwa ku ddagala lya gavumenti.

Wabula n’okutuusa kati eddagala terinatuuka.