Amawulire

Ab’obulwaliro obutono batandise okwesomesa ku COVID-19

Ivan Ssenabulya

March 26th, 2020

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abasawo mu malwaliro agobwananayini nga beegattira mu kibiina kya Uganda Private Clinics and Drug Shops Operators Association bagasse ku gavumenti okulwanyisa mu lutalo leokulwanyisa ekirwadde kya corona.

Abakulembera ekibiina kino bagamba nti, olwokuba abasawo bebatuukirwako abalwadde mu bitundu ebisinga, singa tebeenyigiramu nokumanyisibwa ekimala wandibalukawo ebizibu.

Ayubu Ssegonga ssentebe wekibiina kino agambye nti, abantu bangi abateeberezebwa baddukidde mu masoso g’ebyaalo nga kati batukira mu bulwlairo obutonotono.