Amawulire

abesimbyeewo bategeraganye

abesimbyeewo bategeraganye

Ali Mivule

November 6th, 2015

No comments

File Photo:Abawagizi ba Besigye

File Photo:Abawagizi ba Besigye

Abesimbyeewo ku bukulembeze bw’eggwanga bassizza emikono ku ndagaano mwebasuubirizza okugoberera amateeka.

Abesimbyeewo bano abawera omunaana bakkiriziganyizza okukola awatali kukubagana.

Owa FDc Dr Kizze Besigye wakutandikira Rukungiri, Mbabazi agenda Masaka , Museveni wa Luweero, ate yye Prof Baryamureeba ategeezezza nti wakutambula ne Mbabazi.

Omukyala yekka Kyalya Walube akwataganye ne Mabirizi okutambulira awamu.

Wano akulira akakiiko akalondesa Eng.Badru Kiggundu w’asinzidde n’asaba abesimbyeewo okukolagana nabo okwewala akavuyo konna