Amawulire

Abe’Pallisa baguddemu ekiddukano

Abe’Pallisa baguddemu ekiddukano

Ivan Ssenabulya

July 19th, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Abatwala ebyobulamu mu disitulikiti ye Pallisa, balaze okuty oluvanyuma lwabantu okugwamu ekiddukano wakati mu mataba agabalumbye.

Abantu absinze okukosebwa nendwadde eno bali m Luzira, Kadungu, Amasana, nawalala ngabantu 100 bebakafunika nga balwadde.

Kino kivudde ku mataba, nga wetwogerera abantu tebalina webajja mazzi mayonjo.

Godfrey Mulekwa nga ywatala ebyobulamu mu disitulikiti ye Pallisa akaksizza nti wewaawo obulwadde buno bwalumbye ekitundu naye tebalina nsimbi okuteeka ntekateeka zokulwanyisa ekiddukano.

Agambye nti gavumenti buno tebutwala ngobulwadde obwamaanyi.