Amawulire

Ab’engulu bakyabonabona

Ali Mivule

September 26th, 2013

No comments

Northen Uganda

Yadde nga amasasi n’okubwatuka kwa bbomu byasirikiriramu mu bukiikakkono bw’eggwanga,abaayo bakyabonaboona.

Okusinzira ku alipoota y’ekibiina kya ekikola okunonyereza ekyensi yonna ekya  International Alert ,enkaayana z’ettaka zeyongera buli lukya nga kw’ogasse n’obutabanguko mu maka.

Bw’abadde afulumya alipoota eno, ekubye toochi mu mirembe n’obutabanguko mu kitundu kino, akulira ekibiina kino  Richard Busingye agamba kino kiviiriddeko abantu ab’etta okweyongera mu bitundu ebyo.

Agamba bekikwatako bakyalemeddwa okuteekawo amateeka aganamalawo obukubagano naddala ku mitendera egya wansi.

Okusinziira ku alipoota eno abantu 56 bebetta mu mu mwezi gumu olw’enkaayana z’ettaka nga kw’ogasse n’obwavu.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *