Amawulire

Abe’Koboko basazeewo okuggala ensalo

Abe’Koboko basazeewo okuggala ensalo

Ivan Ssenabulya

April 22nd, 2021

No comments

Bya Musasi Waffe

Abakulembeze mu disitulikiti ye Koboko, bakanyizza nti baggalewo ensalo yaabwe ne gwanga lya South Sudan ebadde egatta ku Yei.

Kino bakikanyizzaako mu lukiiko olutudde, nga bagambye nti olwobutali butebenkevu mu bitundu ebyo tebajja kuzinga mikono.

Bagambye nti newankubadde waliwo bann-Uganda bebatta gyebuvuddeko, bangi naddala abagoba ba loole bkyagenda mu maaso okulasa anga bayita e Yei okutuuka e Juba.

Meeya wa munisipaali ye Koboko, Wilson Sanya agambye nti ekyo kyebasazeewo era weabsibidde.

Wabula ekiteeso kino balindiridde minisitule yensonga ze bweru we’gwanga neyensonga zomund mu gwanga okukikakasa kiryoke kitandike okukola.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *