Amawulire

Ab’ekitongole kyamazzi bazeemu okusubiza

Ab’ekitongole kyamazzi bazeemu okusubiza

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2021

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Ekitongole kyamazzi ne kazambi, okulwawo okutongoza polojekiti yamazzi eya Mukono-Katosi bakitadde, ku migozobano gyebasanze mu kugula bikozesebwa.

Okutongoza polojekiti eno, baaali basubizza nti kwakuberawo mu February womwaka guno, wbaula bazze bayongezaayo.

Mukono-Katosi yakusunsula n’okusunda amazzi, obukadde liita 24 buli lunnaku, okugabunyisa mu disitulikiti za Kampala nemirirwano.

Ssenkulu wekitongole kyamazzi Eng Dr. Silver Mugisha agambye nti babadde baliko emidumu gyebetaaga, nayenga tekinatuuka ekivuddeko aba kampuni ya SOGEA-SATOM eyaweebwa omulimu guno, okulwawo.

Kati Mugisha azeemu okusubizza, nti polojekiti eno baakujijjako engalo, mu masekati go’mwezi ogujja ogwokutaano.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *