Amawulire

Ab’ekisinde kya 4GC bazzeemu

Ali Mivule

June 25th, 2013

No comments

4GC again

Ab’ekisinde kya For God and My country balangiridde owkekalakaasa okugenda okubuna eggwanga lyonna olunaku lw’enkya.

Okwekalakaasa kuno kuvumirira engereka y’emisolo gyebagamba nti ssiyabwenkanya.

Omukwanaganya w’emilimu gy’ekisinde, Mathius Mpuuga, agamba nti okwekalakaasa kuno era mwebagenda okuyita okulaga obuwagizi bwaabwe eri abasuubuzi abali mu kwekalakaasa kko n’abantu balala abagenda okwekalakaasa olunaku lw’enkya nga baawakanya ekya gavumenti kwezza kampala .

Ng’ayogerako eri bannamawulire mu lukungaana ku kitebe kyaabwe e katonga, omubaka we Kyaddondo mu buvanjuba, Ibrahim Semuju Nganda alabudde poliisi obutagezaako kuyingirira kwekalakaasa kwaabwe