Amawulire

Abebyowerinda betegekedde abakozi be ffujjo

Abebyowerinda betegekedde abakozi be ffujjo

Ivan Ssenabulya

January 8th, 2021

No comments

Bya Benjamin Jumbe

Minisita owensonga zomunda mu gwanga Gen Jeje Odong alabudde banabybufuzi, nabesimbyewo bonna okwewala effujjo eryengeri lyonna mu kulonda kwomukulembeze w egwanga nababaka ba palamenti wiiki ejja.

Bino webijidde ngebula ennaku 5 okutuuka ku lunnaku lwokulonda.

Bwabadde ayogera ne bannamawulire Gen Odong agambye nti abakuuma ddembe betegese ekimala, okukuuma obutebenkevu ku lunnaku lwokulonda.

Alabudde nti tewali muntu yenna gwebagenda okuwa omukisa gwonna, okutabangula egwanga.

Ate polisi etegezezza nga bweyetegese okukolagana na bonna abakwatibwako ensonga, okuyita mu kulonda kwa wiiki ejja mu mirembe.

Mu lukungaana lwabanamwulire lwerumu, ssabapoliisi we gwanga Martin Okoth Ochola agambye nti okukolera wamu kikulu nnyo, okusolonda bwekunaaba kwakubeera kwazima na bwenkanya.