Amawulire

Abebyokwerinda bazeeyo mu kifo awabadde obutemu ku Gen Katumba

Abebyokwerinda bazeeyo mu kifo awabadde obutemu ku Gen Katumba

Ivan Ssenabulya

June 2nd, 2021

No comments

Bya Ritah Kemigisa ne Damalie Mukhaye

Abakulu mu byokwerinda, bongedde okuyiwa abasirikale abapmpi nabawanvu mu kifo, minisita webyentambula Gen Katumba Wamala webamukoleddeko obulumbaganyi, e Kisasi.

Gen Katumba yasimattuse okufa abatamanya ngamba bwebakubye mmotoka ye amasasai agawerako, wabula muwala we Brenda Nantongo ne dereva we Haruna Kayondo nebalugulamu obulamu.

Kati abajaasi, nabasirikale ba poliisi, okuli naba LDU olwaleero bazeeyo mu kifo ekyo, okwongera okwekennenya embeera nokwongera okukunaanya obujulizi obwetagibwa.

Ettemu lino lyabadde ku Kisoto road, oluguudo olugatta Kisaasi ku Bukoto.

Kitegezeddwa nti olunnaku lweggulo, waliwo nenkambi yabajaasi eyakubiddwa ku mabbali mu nnimiro eri okumpi awo

Yye minisita webyentambula n’emirimu Gen Katumba Wamala amakya ayise ku twitter neyebaza abantu abenjawulo abamutasizza, bweyakoleddwako obulumbaganyi olunnaku lweggulo.

Ono yebazizza owa boda boda eyamuvuze omukujja e Kisasai awabadde obutemu, okumuddusa mu Malcom clinic gyebamuweredde obujanjabi obusokerwako.

Gen Katumba agambye nti agenda akuba ku matu, asobodde nokulaba ku limu ku masasai gebamujeemu.

Agambye nti akyebuuza ekigendererwa kyabwe kyabadde kiki okwagala okumutta, naye asaba nti abakikoze bavunanibwe.

Katumba era yebazizza nomukuumi we Sgt. Khalid Koboyoit eyakoze ekisoboka okumutaasa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *