Amawulire

Abebyokwerinda baboye ente 20 e Kalungu

Abebyokwerinda baboye ente 20 e Kalungu

Ivan Ssenabulya

February 23rd, 2021

No comments

Bya Gertrude Mutyaba

Ab’ebyokwerinda mu disitulikiti ye Kalungu baliko ente zebakutte ezisoba mu 20, nga kigambibwa nti babadde baziggye mu gwanga lya Tanzania, songa eno balangirirayo kalantini.

Akuliddemu ekikwekweto kino Barnabus Rugyenda okuva mu ministule yebisolo agambye, nti ente ezikwatiddwa ziriko obulambe bwe Tanzania.

Rugyenda wano wasinzidde naakukkulumira abasawo b’ebisolo okumala gagaba mabaluwa nga tebamaze kwekenenya nte.

Ye nannyini nte zino, nabalunzi abalala basambazze ebyogerwa nti ente zibadde ziva Tanzania.