Amawulire

Abébyóbulamu batandise okunonyereza ku balwadde ba covid 2 mu kampala

Abébyóbulamu batandise okunonyereza ku balwadde ba covid 2 mu kampala

Ivan Ssenabulya

July 30th, 2020

No comments

Bya Juliet Nalwoga, Minisitule evunanyizibwa ku byóbulamu mu ggwanga ngériwamu ne kitongole kya Kampala Capital City authority batandise okunonyereza kungeri bannakampala 2 abazuulibwamu ekirwadde kya covid gye bakifunamu.

Mu kwogerako eri eggwanga olwaleero, minisita we byobulamu Dr Ruth Aceng abalwadde bavudde mu bantu babulijjo mu bifo awatasuubirwa kubaamu kirwadde,

Aching agamba nti omu ku balwadde 2 alibubi nyo ddala songa nomulala era embeera mbi

Wano wasabidde buli muntu okwerinda ekirwadde kino.

Yye akulira ebyobulamu mu kcca Dr Daniel Okello asabye bannauganda okwewala abantu abalina ekirwadde kino nga abakugu bwebakola ogwabwe.

Mu kiseera kino minisitule yakoze okukalala lwa bantu 75 bewenja mu kampala oluvanyuma lwomukyala owokubiri atemera mu gyobukulu 80 omutuuze we Mengo Kisenyi okufa ekirwadde songa abasawo 27 mu ddwaliro e Mengo abagambibwa okuba nti basembererako omukyala ono.