Amawulire

Ab’ebidiini batabuse- ababala bakwongerwa mu bitundu

Ali Mivule

September 1st, 2014

No comments

Censuse More census sevo

Ekitongole ekikola ku by’emiwendo era nga kyekikulembeddemu okubala abantu,kitegeezezza nga bwekigenda okwongera ku bungi bw’ababala abantu, nga kino kiddiridde emisanvu egyizze gyeyoleka  mukubala abantu okugenda mu maaso.

Kinajjukirwa nti okubala abantu kwakumala ennaku 10 zokka, wabula nga abawakanya okwewandiisa kuno, kko n’enkyukyuka y’obudde bikoseza nyo okubala abantu.

Ayogerera ekitongole kino Godfrey Nabongo  atubuulidde nti bafunye ebizibu ebitagambika omuli n’abawandiika okwekumamu ogutaaka olw’ensimbi, songa n’ebitundu ebimu bizibu ddala okutuukamu .

Kakati Nabongo agambye nti mangu daala bakusindika ababala abalala okuyamba munteekateeka eno.

E Namayingo poliisi eriko abantu 4 abateberezebwa okubeera abagoberezi b’ekidiinidiini ekya Njiri ababadde balemesa abantu okubalibwa.

Abakwatiddwa kuliko Onyango Ibrahim, owino Emanuel, Abas kaboyi, ne  Olwenyi.

RDC we Namayingo Mpimbaza Ashaka atubuulidde nti poliisi etandise omuyiggo gw’abakulira ekidiinidiini.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *