Amawulire

Abe Mukono babbye omuceere gwa gavumenti

Abe Mukono babbye omuceere gwa gavumenti

Ivan Ssenabulya

September 5th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Sipiika wa district ye Mukono Emmanuel Mbonnye
agambye nti waliwo abantu ababulankanya obuyambi obwava mu wofiisi ya Ssabaminista, obwali bugenda ku mwalo gwe Katooke e Koome.

Kinajjukirwa nti abantu bano bafuna enjega y’omuliro omwezi oguwedde, wabula Mbonye agambye nti baweebwa obusawo bwomuceere 600 naye gwatuuka teguwera.

Wabula omu kuba kansala Majala abaawerekera emmeere bwebaali, bajitikka ku mwalo e Katosi okugenda e Koome, agembye nti ssentebbe wa district yamanyi obulungi ensonga zino.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *