Amawulire

Ab’e Mubende bemulugunyiza kunnonda ya ba RDC

Ab’e Mubende bemulugunyiza kunnonda ya ba RDC

Ivan Ssenabulya

February 6th, 2021

No comments

File photo: Abatuze be mubende

Bya Magembe Sabiiti,

Oluvanyuma lwa president Museveni okulonda ba RDC abaggya n’okukola enkyukakyuka mu baliwo abakulembeze mu district ye Mubende sibamativu nengeri president Museveni gyeyalonzemu abantu bano nga Mubende tefunyeyo kifo kyona.

Bano nga bakulembedwamu omubaka we Sazza lye Kasambya eyakalondebwa David Kabanda, ne Rev Kasirabo Enock eyakulira kampeyini za president Museveni ez’omulundi guno bagamba nti obutawebwayo kifo kyona mu ba RDC abalondeddwa kabonero akalaga nga president Museveni bwatasiima kyebakola mu kulonda kuno Mubende mweyamuwera obululu ebitundu 65% nababaka ba parliament 4.

Bano balabudde nti singa enkola eno enagenda maaso Mubende siyakusigala nga ewagira NRM mukulonda okugya kuba mu bitundu nga Luuka district, Ssembabule newalala president Museveni gyeyawangulwa bafunye ba RDC.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *