Amawulire

Abe Mpigi batabukidde ab’aChina

Ivan Ssenabulya

July 4th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo

Abakulembeze ba district y’e Mpigi nga bakulembeddwamu ssentebe Peter Mutuluza balidde matereke n’abakulira kampuni y’aba-China ekola engatto eya Starlight Point Limited.

Kampuni eno esangibwa Buyala mu gombolola y’e Muduuma, wabula abobuyinza babalumirizza obutasasula musolo ogwa local service tax nokubanenya obutasasaula bakozi.

Abakulembeze bazinzeeko ekkolero kyokka nebasooka okulemesebwa okuyingira, wabula oluvannyuma lw’okukuba amasimu agokumu okumu mu b’ebyokwerinda, aba-China bapondoose nebaggulawo.

Eddie Muganga manager wa kampuni eno, akirizza nti babadde tebasasulanga ku musolo, bukyanga batandika okukola.

Eno abakozi basasulwa wakati we nnusu 600 ne 4,000 buli lunaku, tenga nembeera gyebakoleramu mbi.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *