Amawulire

Abe Lwengo balojja poliisi

Abe Lwengo balojja poliisi

Ali Mivule

October 29th, 2015

No comments

File Photo: Bana Nrm nga balwana

File Photo: Bana Nrm nga balwana

Abeesimbyewo mu kamyufu ka NRM mu disitulikiti  ye Lwengo balumirizza abaserikale ba poliisi abakwatiddwa mu kitundu kino nti betabye mu kubba obululu.

Nga bakulembeddwamu Dr. Sarah Nkonge eyesimbyewo ku kifo ky’omubaka omukyala ow’e Lwengo  Lwengo wamu neyesimbyewo ku bwa ssentebe bwa disitulikiti George Mutabaazi,bategezezza nga  Michael Ndirimo omuserikale ku poliisi ye Mbirizi bweyetabye buterevu mu kubba obululu.

Nkonge agamba balina obujulizi obumala nti ddala Ndirimo y’abadde ayogerageranya n’abesimbyewo abamu nga ababbira obululu.