Amawulire

Abe Kenya bali bulindaaala olw’Ebola

Abe Kenya bali bulindaaala olw’Ebola

Ivan Ssenabulya

June 14th, 2019

No comments

Bya David Awori

Mungeri ey’okulwanyisa ekirwade kya Ebola ekyabaluseewo mu Uganda, mu district ye Kasese abebyobulamu ku muliraano mu gwanga lya Kenya bagamba nti bali bulindaala ku yaabye ne Uganda.

Kati abakugu mu byobulamu bateredwa ku nsalo eye Busia ne Malaba, okwongera amaanyi mu kukebeera abanyigira mu gwanga.

Dr. Isaac Omeri ow’ebyobulamu ku nsalo ye Busia, agambye nti bakebera abantu nokumanya ebibakwatako, ng’oluvanyuma abakeberedwa baweebwa ebbaluwa ezikakasa embeera yobulamu bwabwe.

Kinajjukirwa nti ku ntandikwa ya sabiiti eno, ministry y’ebyobulamu wano muUganda yakakasizzaekirwadde kino  ngabantu 2 bebakafa.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *