Amawulire

Abe Kabowa ku mwala bagaanye okusasula omusolo

Abe Kabowa ku mwala bagaanye okusasula omusolo

Ivan Ssenabulya

July 10th, 2019

No comments

Bya Shamim Nateebwa

Ng’ekitongole kya KCCA kikyezooba n’abatuuze mu Kampala ku omusolo gw’amayumba, bbo abatuuze abalina amayumba agasulirirwa okumenyebwa ku mwala gw’e NALUKOLONGO bakalambidde nti tebajja kusasula musolo guno.

Abatuuze bagamba kinaaba kikyamu okubasasuza omusolo gw’amayumba, atenga babalagira nti amayumba gaabwe galiwo mu bumenyi bwamateeka.

Bano bagamba nti nensimbi zebabasubiza aokubaliyirira, nokutuusa kati tezibawebwanga.

Sentebbe wa Kironde Zone mu Kabowa, Sambwa George agambye nti bamaze okuwandikira aba KCCA, nga bemulugunya.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *