Amawulire

Abazigu bayingiridde abo’luganda nebatta 2

Abazigu bayingiridde abo’luganda nebatta 2

Ivan Ssenabulya

July 15th, 2019

No comments

Bya Sadat Mbogo
Police mu district ey’e Mpigi etandise okunonyereza ku ttemu erikoleddwa mu ggombolola ye Kammengo, abazigu bwebazinzeeko ekyalo Bukabi mu muluka gw’e Musa nebatta abooluganda babiri wamu n’okulumya omulala omu abasangiddwa mu maka gaabwe.
Abattiddwa bategeerekese nga; Nansubuga Annet 55, gwebakazaako erya Nabagwaako wamu n’omuzukuluwe ategerekeseeko limu erya Namuli ow’emyaka 8 ate omuzukulu omulala ow’emyaka 6 era nga naye amannya ye Namuli bamusaze n’ekiso mu bulago wabula asimattuse okufa era addusiddwa mu ddwaliro ery’e Nkozi nga taasiibewo taasulewo y’ali ku mimwa gy’abatuuze.
Abeerabiddeko n’agaabwe bagamba abatemu babadde babiri nga beesibye obukookolo mu maaso.
Abadduukirize abalabye ku mirambo bannyonnyodde nti Nansubuga Annet bamusazeeko obulago, nebamufumita ebiso mu kifuba era omulambo nebagubikkako ebintu byawaka omuli amasowaani n’engoye.
Omwogezi wa police mu kitundu ekya Katonga Joseph Tulya agambye nti batandise okunonyereza ku ttemu lino era awanjagidde buli alina ky’amanyi okutemya ku police.
Emirambo gy’abagenzi jitwaliddwa mu ggwanika ly’eddwaliro e Gombe okwongera okwekebejjebwa.
Ebyo webigwiriddewo ng’abatemu baakamala okulumba omusuubuzi omututumufu ow’ebikozesebwa mukuzimba amanyiddwa nga Migamba mu Kabuga ak’e Buwama nga naye abatemu baamulumbye mu makaage e Buwama nebamutemaatema kyokka nabesimattulako nadduka.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *