Amawulire

Abazirwanako basaaye ekitoogo

Ali Mivule

June 24th, 2013

No comments

VEterans destroy wetland

Abazirwanako bazinze ekitoogo kye Lubigi nebakisaawa.

Wabula poliisi tebakkirizza kumaliririza kugabana midaala bw’ebakubyeemu omukka ogubalagala nebabuna emiwabo.

Nga babagalidde amajambiya n’enso, abantu bano abali mu kikumi balumbye ekitoogo kino ekiri e Namungoona nebasaawa buli kimu era nga poliisi ebadde tennatuuka mu kitundu kino.

Abazirwanako bano beebamu balumba ekitoogo kino omwaka guno kyokka poliisi n’ebafumuula nga nabugi ssimufungize.

Olutobazi luno luyamba nnyo mu kukwata amazzi agandibadde ganjala mu kibuga.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *