Amawulire

Abazigu balumbye ekkolero ly’engoye e Wakiso ne babba ensimbi
Bya Sadat Mbogo
Abakozi mu kampuni ya Mmacks investment limited bawonedde watono okuttibwa, abazigu bwebalumbye kampuni eno n’emmundu mu kiro ekikeeseza olwaleero wali mu district ye Wakiso.
Bino bibadewo ku sawa nga mwenda nekitundu, omu kubakozi bw’abadde agenda ewaka n’asanga ekibinja ky’ababbi olwo nebamubuuza nti balina abakuumi bameka ku kampuni eno, nebiralala ebikwata ku mmundu zebakozesa.
Ono oabagambye nti tamanyi nebamusiba emiguwa nebamukasuka mu kitoogo neboolekera ku kampuni.
Wabula ono mu okwerwanako neyeesumulula era nawereza obubaka ku ssimu eri banne beyalese ku kampuni, era ababbi babasenze babetegeedde.
Ababbi kitegeerekese nti basokedde ku bakuumi babiri nebabasiba emiguwa olwo neboolekera mu bakozi nga ava okwetaawuluzaako nebamubuuza banne jebali.
Abazigu bano batutte ensimbi ezitannamanyika muwendo ne computer ssatu, nga kigambibwa nti babadde bawera 10 era ngabasatu babadde bakazi nga bambadde obukookolo ku maaso.
Poliisi etegezezza nga bweyatiddwa era netuuka mu budde okutaasa embeera, era ekubye amasasi negakwata omu ku babbi nga wetwogerera ali mu ddwaliro.