Amawulire

Abazigu babbye mu maka ga Ssabasumba Lwanga

Abazigu babbye mu maka ga Ssabasumba Lwanga

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2021

No comments

Bya Juliet Nalwoga

Poliisi ye Nagalama mu disitulikiti ye Mukono, etandise okunonyereza ku bubbi obwakoleddwa mu maka geyali, Ssabasumba we’ssaza ekkulu erye Kampala Omugenzi Dr Cyprian Kizito Lwanga mu kiro ekyekesezza olwaleero.

Obubbi buno bwabadde ku kyalo Kyabakadde mu gombolola ye Kyampisi mu disitulikiti ye Mukono, obutaka bwa Ssabasumba.

Amyuka omwogezi wa poliisi mu Kampala nemirirwano Luke Owoyesigyire agambye nti bategedde abazigu bano nga babadde basoba mu 15.

Babadde bamabadde obukokolo ku maaso, mu ngoye ezabulijjo nga bebagalidde nebijambiya.

Okuyingira munda basoose kumenya ekikomera, era mu bintu byebabbye kubaddeko amasimu ag’omungalo n’ensimbi enkalu awamu emitwalo 25.

Wbula poliisi etegezezza nti basobodde okukungaanya obujulizi bwebetaaga mu kifo kino, era okunonyereza kugenda mu maaso.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *