Amawulire

Abazadde banenyezebwa ku ky’abaana okukola obubi ebigezo bya PLE-Janet

Abazadde banenyezebwa ku ky’abaana okukola obubi ebigezo bya PLE-Janet

Ivan Ssenabulya

July 17th, 2021

No comments

Bya Damali Mukhaye,

Minisita owebyenjigiriza ne byemizannyo Janet Museveni anenyeza abazadde kulwabaana abakoze obubi mu bigezo ebye kibiina ekyomusanvu ebyafulumye olunaku olweggulo.

Ebyavudde mu bigezo byalaze nti abayizi mu masomero agobwannanyini bakoze bulungi nyo okusinga abali munkola ya bonna basome

Okusinzira ku ssabawandiisi wa UNEB, Daniel Odongo yagambye nti amasomero agobwannanyini okusinga gali mu bibuga.

Janet agamba nti abazadde mu bibuga bafaayo okunsoma ya baana babwe ekitali ku bazadde abali mu byalo abaleka na baana okugenda ku masomero nga tebalina kebalidde songa batambula engeddo empaavu.

Wano wategereza nti ekyabayizi bomu byalo okukola obubi tekirina kunenyezebwa ku gavt kuba na bazadde kibakwatako.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *