Amawulire

Abazadde b’abaana abatawulira bawereddwa amagezi

Abazadde b’abaana abatawulira bawereddwa amagezi

Ivan Ssenabulya

July 27th, 2019

No comments

Bya Prossy Kisakye, Abakugu mu kujjanjaba abantu abatawulira bawadde abazadde amagezi okufaayo enyo okukebeza abaana baabwe nga bakazaalibwa basobole okumanya oba nga bawulira oba nedda.

Bano bagamba nti singa omwana akeberebwa nga bukyali ne kizuulwa nti tawulira aba asobola okuwebwa obujjanjabi nabeera ng’abalala.

Dr. Phiona Kamya ngono musawo wa Matu ku ddwaliro lya international hospital omwana okuzaaliba nga tawulira kiva ku neyisa ya maama ngali lubuto noluusi okufuna obuzibu nga batuuse mu kiseera eky’okuzaala.

Ono mungeri yemu asabye gavumenti okuyambako mu kusomesa abantu okulaba nti enteekateeka ya Isurance y’ebyobulamu etekebwa mu nkola buli munnayuganda ali mu bwetavu afune obujjanjabi.

Okusinzira kitongole ky’ebyobulamu munsi yonna ku buli muwendo gw’abantu mu ggwanga 10% baba baliko obulemu nga muno mwemuli na batawulira.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *