Amawulire

Abaayonoona ebintu baakuwa engasi y’amitwalo 20

Abaayonoona ebintu baakuwa engasi y’amitwalo 20

Ivan Ssenabulya

August 14th, 2019

No comments

Bya Abubaker Kirunda

Omulamuzi we ddala erisooka e Kaliro Wilberforce Egessa asalidde abantu 14, ekibonerezo kyakusibwa omwezi mulamba olwokwonoona ebintu mu bungerevu.

Bano bonna batuuze ku kyalo Naigazi mu gombolola ye Bumanya ne Panyoro mu gombolola ye Gadumire, ngomusango baaguzza mu 2013 okusinziira ku ludda oluwaabi.

Bano baalumba amaka ga Moses Woila ne Joel nebagasanyawo, nga babalumiriza okuleeta ebya wongo ku byalo, kooti kyegamba nti yazudde nga kwaali kuwayiriiza.

Kati omulamuzi alagidde nti obusibe babukolerere mu maka gaabwe, buli lunnaku bakereenga balongoose eddwairo lyomu kitundu kyabwe.

Wano era buli omu amulagidde asasule emitwalo 20 okuliwa eri abo bebayonoinera ebintu byabwe.

Leave a Reply

Your email address will not be published. Required fields are marked *