Amawulire

Abayizi ku UCU basabye EALA eyingire mu mpaka z’obubina

Abayizi ku UCU basabye EALA eyingire mu mpaka z’obubina

Ivan Ssenabulya

February 8th, 2019

No comments

Bya Ivan Ssenabulya

Abayizi ku ttendekero lya Uganda Christian University batadde ku nninga, ababaka mu palamenti ya EALA, eyamawanga gobuvanjuba bwa Africa, bayingire mu nsonga zempaka zabanalulungi, katonda beyasinga okuwnda, era abalina obubina, ezawomeddwamu omutwe, minister omubeezi owebyobulambuzi Godfrey Kiwanda.

Bino webijidde ngabalwanirizi be ddembne lyabakyala, ekkanisa ya Uganda nababaka abamu mu palamenti ya kuno, baavuddeyo nebavumirira enteklateeka eno, nga bagamba nti kityoboola ekeitiibw akyomukyala.

Abayizi nga bakulembeddwamu Allan Kato, bagambye nti kino kigenda kutatana ekifanayi kya Uganda, mu mawnaga agomukago gwa East Africa Community, naddala mu byokukuuma eddembe lyobuntu.

Bino bibadde mu nsisinkano, yababaka ba Uganda mu EALA, wali ku ttendekero lya UCU e Mukono, mu kawefube gwebatandise okumanayisa abantu ebikolwa EALA.

Kati ababaka nga bakulembeddwamu Mary Mugyenyi basubizza, nti bagenda kusisinkana minister Kiwanda, okuuwayaamu.

Wabula yye minister yagamba nti kawefube ono alubiridde kutumbula byabulambuzi.