Amawulire

Abayizi e Makerere bakwekalakaasa

Ivan Ssenabulya

April 16th, 2018

No comments

Bya Ritah Kemigisa

File Photo: Abayizi nga bekalakasa

Abayizi ku ttendekero e Makerere University balangiridde akegugungo, nga babanja ensonga zaabwe ezibakosa zikolebweko mu bwangu.

Bwabadde ayogerako naffe president wabayizi ku ttendekero Papa Were Salim agambye nti kino kyakanyiziddwako, abakuembeze babayizi nga April 14th.

Were ensonga ezimu abayzii zebemuugunyako agambye nti kuliko okwongeza kwebisale, obubonero bwabwe obubulankana, obutabawa mmere mu bisulo byabwe gyebasula, okujjawo okusoma kwekiro, nebiralala.

Bano era balagidde abakulu abatwala ettendekerolye Makerere okuvaayo okulaga webayimiridde ku nsonga zakakiiko akanonyererza ku ntamula yemirimu byekazuula, mu kiffo kyokuyita ku mitimbagano , wabula bayite mu makubo amatuufu okutuusa obubaka.

Abayizi era bagamba nti bagenda kuzira emsisnde egya Mak Run ejibindabinda, ejingedereddwamu okusonda ensimbi okkulakulanya Makerere.

Wabula mu kwanukula, mu kiwandiiko ekifulumizddwa akawungeezi akayise, omwogezi wa Ritah Namisango asabye abayizi okukakana kubanga omumyuka wa ssenkulu Prof Barnabas Nawangwe wakusisinkana abakulembeze baabwe ku Lwokusattu lwa wiiki eno, nga yakava mu Nairobi okubaako byebakanyako.